Psalms 94

1 aAyi Mukama, ggwe Katonda awalana eggwanga,
ggwe Katonda awalana eggwanga, labika omasemase.
2 bGolokoka, Ayi ggwe Omulamuzi w’ensi,
osasule ab’amalala nga bwe kibagwanidde.
3Ayi Mukama, omukozi w’ebibi alikomya ddi?
Omukozi w’ebibi alituusa ddi ng’asanyuka?

4 cBafukumula ebigambo eby’okwewaanawaana;
abakola ebibi bonna beepankapanka.
5 dBabetenta abantu bo, Ayi Mukama,
babonyaabonya ezzadde lyo.
6Batta nnamwandu n’omutambuze;
ne batemula ataliiko kitaawe.
7 eNe boogera nti, “Katonda talaba;
Katonda wa Yakobo tafaayo.”

8 fMwerinde mmwe abantu abatategeera.
Mmwe abasirusiru muligeziwala ddi?
9 gOyo eyatonda okutu tawulira?
Oyo eyakola eriiso talaba?
10 hOyo akangavvula amawanga, taakubonereze?
Oyo ayigiriza abantu talina ky’amanyi?
11 i Mukama amanyi ebirowoozo by’abantu;
amanyi nga mukka bukka.

12 jAyi Mukama, alina omukisa oyo gw’ogunjula,
gw’oyigiriza eby’omu mateeka go;
13 komuwummuzaako mu kabi kaalimu,
okutuusa abakola ebibi lwe balisimirwa ekinnya.
14 lKubanga Mukama talireka bantu be;
talyabulira zzadde lye.
15 mAliramula mu butuukirivu,
n’abo abalina emitima emigolokofu bwe banaakolanga.

16 nAni alinnwanyisizaako abakola ebibi?
Ani alinnwanirira eri abakola ebibi?
17 oSinga Mukama teyali mubeezi wange,
omwoyo gwange gwandiserengese emagombe.
18 pBwe naleekaana nti, “Nseerera!”
Okwagala kwo okutaggwaawo, Ayi Mukama, ne kumpanirira.
19Ebyeraliikiriza omutima gwange bwe byayitirira obungi,
okusaasira kwo ne kuzzaamu omwoyo gwange amaanyi.

20 qOyinza okukolagana n’obufuzi obukyamu,
obukaabya abantu n’amateeka gaabwe?
21 rAbakola ebibi beegatta ne balumbagana abatuukirivu;
atasobezza ne bamusalira ogw’okufa.
22 sNaye Mukama afuuse ekiddukiro kyange eky’amaanyi;
ye Katonda wange, era Olwazi lwange mwe neekweka.
23 t Mukama alibabonereza olw’ebibi byabwe,
n’abazikiriza olw’ebyonoono byabwe;
Mukama Katonda waffe alibamalirawo ddala.
Copyright information for LugEEEE